@feeling sad Nanti nkedde wa nyabbo Musanze mu duuka lye - TopicsExpress



          

@feeling sad Nanti nkedde wa nyabbo Musanze mu duuka lye nangamba nti nkumilako awo male okufumbira chai. Kati newajja omukyala ngayagala half ya sukaali naye nga Ku sente kubulako shs 200 , nenjimuma !! Kati maama waletedde chai , bwamulabye nebabuzaganya bulunji omukyala nafuluma , Maama nambuuza nti Oyo Omumanyi? Ye abadde ayagalaki? Maama mbadde sinamuddamu nangamba nti gwe wenakuzalila ngoyo omukyala ye house girl waffe wano, Kati gwe nze nakuzaala totuuse (premature) naye bakusa mu kyuuma omwezi gumu ogwadilila nabakusiba kukifuba kyomukyala Oyo , Mbu ye maama bweyamala okunzaala yalwala nyo nebamuwa nekitanda . Kati omukyala Oyo mbu namwagalanyo mbu ela bwenakaabanga , nganzijilayo ebeele nganyoonka!!!!! Mbu nemulutalo olwa 1979 maama bweyali atudusa abakombozi ngatutwala ewabwe ejandila, Nze nalemela Ku mukazi paka bwebamwegayilila agende naffe duleke atelele....... Ebidilidde sibilinze nenkwata sukaali wa mama kilo nnya nenziluka nziwe omukyala, nemunoonya awo Ku stage wembadde musubila nambula.....ndowoza nempunga nenyimilila mukubo wakati , Police patrol sitegedde jevudde naye babadde bantomedde nebayimila , nebantwala Ku police , Bwembanyonyodde nebayita maama awo nganamaziga gankulukuta !!!!!! Maama nangamba nti tofaayo omukyala atela okuyitawo njakuyita lwaliba aze. Sukaali nemuwa this female police officer who tried to console me , the police officer politely refused,,,,,,,,,,,,,,,,,, Good day friends Tears rolling down my ,.......
Posted on: Thu, 28 Aug 2014 06:55:56 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015