ABAZANNYI mu kiraabu za liigi ya babinywera (Super) - TopicsExpress



          

ABAZANNYI mu kiraabu za liigi ya babinywera (Super) bagaaniddwa okuzannya mu mpaka za ‘Road to Anfield’ ezisuubirwa okuggweera ku kisaawe kya Liverpool ekya Anfield mu Bungereza. Herbert Zaake, omukungu wa bbanka ya Standard Chartered, ewomye omutwe mu mpaka zino, yagambye nti abazannyira mu ‘Super’ baagaaniddwa mu mpaka zino era ttiimu yonna eneebazannyisa yaakuggyibwako obubonero. Kkampuni ya Vision Group yawandiisizza ttiimu ssatu mu mpaka zino ezitandika nga February 21. Zino ye Bukedde, New Vision ne Urban TV. Zaake yagambye nti ttiimu 20 ze zaakeewandiisa kyokka ng’asuubira ttiimu 40. Anaawangula empaka, waakweyongerayo mu mpaka endala e Nairobi mu March avuganye ne kyampiyoni okuva e Kenya, Tanzania ne Rwanda, era aliwangula y’aligenda mu z’akamalirizo ku kisaawe kya Anfield
Posted on: Sat, 24 Jan 2015 19:03:06 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015