AMAWULIRE KU SAAWA KKUMI NEMU NE ORANGE Minisitule y’ensonga - TopicsExpress



          

AMAWULIRE KU SAAWA KKUMI NEMU NE ORANGE Minisitule y’ensonga z’omunda muggwanga eriko abagwira 38 begombyemu obwala nga bano bayingira eggwanga mu ngeri emenya emateeka so ngera babadde tebalina mpapula zibogerako. Omukwanaganya w’ensonga z’okufuluma n’okuyingira eggwanga Simon Peter Mundenyi agamba nti bangi ku bano bakwatiddwa mu bikwekweto byebakoze oluvanyuma lw’okumala ebbanga nga babuuliriza ku bantu bano era nga bangi abakwatiddwa babadde bakola emirimu emitonotono omuli okutunda mu madduka agatunda ebintu byabulijjo, supermarket so ngate abalala babadde bakolera mu makkolero amanene. Bangi ku bano bakutikibwa ku nyonyi bazibwe okwabobwe so ngabalala ensonga zaabwe zikyanonyerezebwako. Amagye g’eggwanga agali ku gwokukuuma emirembe mu Somalia nga gayambibwako amagye ga Somalia baliko eby’okulwanyisa byebasuziza abakambwe ba Al-shabab mu kibuga kya Somalia ekikulu Mogadishu. Eby’okulwanyisa bino ebizuuliddwa mu kikwekweto ttoka owenja mubaddemu bbomu z’omungalo 151, emmundu ezikuba ebikompola 238 bokisi ezikubyeko amasasi 43 wamu nebika byemundu ez’omulembe endala nnyingi. Kirowoozebwa nti eby’okulwanyisa bino bibadde bigenda kukozesebwa kukola bulumbaganyi mu kibuga ekikulu. Ssenkulu wa poliisi General Kale Kayihura asabye abasiraamu okubeera obwerinde eri ebikolwa byekitujju naddala nga basanyuka olwokumalako ekisiibo. Kayihura agambye nti abakambwe bayinza okukozesa amasanyu ga Eidh nebakola obulumbaganyi ku ggwanga. Kayihura agamba nti newankubadde egwanga likakamu wabula emisango omuli abantu okweta wamu nobutabanguko mu maka ate gyo girinye enkadaggo. Libya esabye amawanga amalala okugiyambako okuzikiza omuliro ogukutte etterekero lyamafuta mu kibuga ekikulu Tripoli ngategeeza ng’omuliro guno bweguyinza okuba ogwobulabe eri obutonde bw’ensi wamu n’abantu. Omuliro guno guvudde ku kimpola ekikubye etterekero lino eririmu obukadde bwa lita z’amafuta 6 n’ekitundu. bo abantu abasoba mu 97 bebakafiira mu kulwanagana wakati webiwayi byabamukwata mundu 2 nga bonna balwana bwezizingirire okweddiza ekisaawe ky’enyonyi ekikulu ekisangibwa mu kibuga Tripoli. AMAWULIRE KU RADIOCIT: ENSI TUGISEMBEZA AWO WOLI
Posted on: Mon, 28 Jul 2014 14:13:59 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015