#Bukedde w’Olwomukaaga kawoomera yatuuse dda awo wotera - TopicsExpress



          

#Bukedde w’Olwomukaaga kawoomera yatuuse dda awo wotera okumugula 1. Nnannyini Select Garments ebintu bimutabuseeko, bizinensi ye etunda amasuuti bw’eggaddwa oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula obukadde 700 obumubanjibwa mu bupangisa. 2. Tukuleetedde woodi ey’enjawulo Mulago gye yagguddewo okujjanjaba abantu abatomeddwa bodaboda n’okukulaga ennaku gye balimu. 3. Gavumenti ennyonnyodde ku by’okusazaamu ebitiibwa by’abakulembeze ab’ennono n’egamba nti egenda kuddamu ebiwandiike buto ng’ebitereezezza. 4. Tosubwa ebifaananyi by’embaga y’abagole abaagenze mu Kkanisa nga beevuga mu ngatto z’obupiira. 5. Ate mu Tambula n’Omulembe mulimu ne mwanamuwala Shamim ng’akubuulira obukodyo bw’okutona olugoye n’oyaka. 6 Mu byemizannyo, nga Arsenal ne Man City zeetegekera okuttunka mu Community Shield enkya, tukuleetedde ensonga lwaki Wenger ayagala bawangule omupiira guno. Ye obadde okimanyi nti Ismail Otega kafulu mu kuvulumula mmotoka z’empaka yalyanga ku kasasiro. Biibino ebikwata ku bulamu bwe.
Posted on: Fri, 08 Aug 2014 17:00:01 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015