EBIKULU MU #BUKEDDE WOLWOKUNA: Desire Luzinda agonze nagenda ku - TopicsExpress



          

EBIKULU MU #BUKEDDE WOLWOKUNA: Desire Luzinda agonze nagenda ku poliisi nakola sitetimenti ku bifaananyi bye ebyobuseegu ebyasaasaanyizibwa muganzi we Omunigeria. Omukazi eyafiiriddwa omwana asuulidde KCCA omulambo, abakozi ku City Hall ne babuna emiwabo. Mulimu bboosi eyabbye omwana womukozi we namutwalira omusajja bulijjo gwalimba olubuto. Supermarket yiino ku lwe Ntebe gye baggadde olwokutunda enkoko nebyokulya ebirala ebivundu. Mu Asiika obulamu, tukulaze engeri entebe gye weesuubiramu bweyinza okukulwaza magulu nomugongo. Kuno tukugattiddeko Polofeesa Ssali ngalulaga bwoyinza okwejjanjaba ngokozesa emmere ssaako Jjajja wabaana neddagala lye. Mu Byemizannyo, tosubwa ebyavudde mu nsiike ya Uganda Cranes ne Guinea ssaako abakugu baffe nga bakuteera ttiimu yaffe ku minzaani. Mulimu Tegusulwa ngakuwa ttiimu eziriko oddi ensava ne katuuni yo ennyuvu eya Endere yendiba.
Posted on: Wed, 19 Nov 2014 15:08:32 +0000

© 2015