GENDA NOMULEMBE NE BECKY EBBALUWA YA LEERO Omukyala Norah Magero - TopicsExpress



          

GENDA NOMULEMBE NE BECKY EBBALUWA YA LEERO Omukyala Norah Magero awandiise ebbaluwa ku lwomwami we Steven musoke ali obubi ennyo avunda okugulu agwawo . Byatandiika nga omwami we akwana omukazi nga mufumbo nga bagalana kyoka nga nze nabiwuliranga mu lugambo naye nensilika. omukazi Annet yatuuka ekiseera nga takyayagala bba we olwo nga yagala Steven yekka era bwatyo nanoba ewa bba nagamba omwami wange amupangisize omuzigo eno e kalagala. kyoka obuzibu webuli omusajja Kamali omugishu yajja nga akimye mukazi we kyoka omukazi nagana okugenda ne bba era bwatyo omusajja nagamba abantu nti buli muntu alemesezza mukazi wange okudda awaka ajja kukilaba mubbanga tonno. mugambe Annet adde mu baana be nga sinatabuuka. wayita akaseera omwami wange yali ali ku boda boda nebatomera ekintu era nafuna ebwa kukugulu wamu nekumukono era nemunne abali ku boda yafuna obuvune wabula ye yawona naye omwami wange akyagaanye okuwoonya avunda agwawo tukoye okujajanba omuntu atawona buli kadde avamu amasila , ekintu kyabika kwegamba ndi munaku empitirivu nsaba kunyamba omuntu yenna amujanjabe awone ademu okukola.
Posted on: Wed, 30 Oct 2013 09:15:52 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015