Lwaki poliisi kati y’epepeya n’abazzi b’emisango? Kampala | - TopicsExpress



          

Lwaki poliisi kati y’epepeya n’abazzi b’emisango? Kampala | May 02, 2014 AIP Kirumira (ku kkono)ng’ayogera ku babbi abatigomyaNansana. mail img Bya MUSASI WA BUKEDDE OFIISA wa poliisi, AIP. Mohammed Kirumira ow’e Nansana abadde yeekoledde erinnya olw’okujojobya ababbi n’abakubi b’obutayimbwa. Yonna gy’atwaliddwa omuli e Kampalamukadde, Kisenyi, Kikaaya n’awalala, avuddeyo abamenyi b’amateeka bamwasimula bugolo. Kyokka bwe baamukutte omwezi guno ku by’okulya enguzi, bangi ku Bannayuganda baasigadde beebuuza owapoliisi abadde alwanyisa obumenyi bw’amateeka bw’ayinza okuba nga naye musege ogwerimbise mu ddiba ly’endiga! W’osomera bino ng’akyali ku katebe okutuusa lwe banaamaliriza okumunoonyerezaako. Kirumira agamba nti luno lukwe olukoleddwa abamenyi b’amateeka n’abanene mu poliisi okumuggya ku mulamwa. Kisobola okuba ng’owa poliisi avaayo okulwanyisa abamenyi b’amateeka ate mu poliisi mwennyini mw’akolera mwe muli abanene abamulwanyisa? Kituufu nti mu Poliisi mulimu enkwe, empalana, obutaagaliza n’okulumagana ekireetedde abamenyi b’amateeka okusigala nga beegiriisa? Emirundi mingi abapoliisi bazze bakwatibwa ne bavunaanibwa olw’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka omuli okwekobaana n’ababbi, okubuza obujulizi mu misango, obukuluppya, okulagajjalira emmundu n’emirimu gyabwe, okulya enguzi, okutulugunya abantu naddala gye baba bagenze okukwasisa amateeka, okutulugunya abakozi b’awaka, okwenyigira mu butabanguko mu maka gaabwe n’ebirala. Lipoota y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu (Uganda Human Rights Commission ) eyafulumye ku ntandikwa ya April wa 2014 yalaze nga poliisi ky’ekitongole ekikuumaddembe ekisinze okulinnyirira eddembe lya Bannayuganda. Abamu ku babbi abakwatibwa balina engeri gye baliisaamu abapoliisi ne babata. EBIKOLWA EBIKYAMU Mu February wa 2013, poliisi yalwanagana n’ababbi abaali baduumirwa omuserikale wa poliisi Okello James abaalumba kkampuni ya ssabbuuni eya Excellent Assorted Manufucturers esangibwa mu Nkokonjeru Zooni A e Kyengera n’ettako babiri. Mu July wa 2011, owa poliisi, Abdallah Nangai eyali akolera ku poliisi y’e Kikooge mu Nakasongola yakwatibwa lwa kwazika babbi emmundu ye ne batigomya abantu mu kitundu kino. Mu March wa 2012, owa SPC, Peter Kyazze yakwatibwa nga kigambibwa nti yateeka omusuubuzi ku mudumu gw’emmundu n’amukaka okuggya 1,400,000/- ku kyuma kya ATM Dan Kato, omuserikale wa poliisi y’ebidduka e Wandegeya yakwatiddwa mu bubbi bw’emmotoka! Kato ne banne abalala babiri baapangisa sipensulo ey’ekika kya Noah e Kasese babatwale e Fort Portal, bwe baatuuka mu kkubo ne bamwefuulira nga bagaala okugimubbako. Kato ono era bofiisa ba Kaliisoliiso baamukwata lubona mu November wa 2013 ng’alya enguzi ya 10,000/- okuva ku muvuzi wa bodaboda. Eyali DPC w’e Mukono James Peter Aurien ali mu kkomera e Luzira lwa kutemulwa mukazi we n’abalala. Kyokka nga kino kituuza butuuza! Omuserikale omu owa tulafiki yang’ambye nti bakama baabwe babatuma ssente ze balina okubatwalira akawungeezi, bw’otokikola ggwe nga bakuggya ku luguudo oba okukusindika awalala. Omulala yagambye nti abafere abasinga mu Kampala, balina abanene be beekwata, omwezi bwe guggwaako nga babawaayo ku ssente okusigala mu ‘bizinensi!’ Oba abamu ku bano be bbo Kirumira b’agamba nti yabasanze bakukuta n’ababbi abaludde nga banoonyezebwa. ‘Bakama baffe abamu batulyako omusaala’ ABAMENYI b’amateeka bangi beeyambisa enkolagana yaabwe n’abapoliisi okutigomya abantu mu bitundu eby’enjawulo. Bano olubakwata nga bakubira abapoliisi amasimu okubataasa, abamu bakolagana nabo butereevu mu bikolwa bino, abalala babawa ebyokulwanyisa bye bakozesa ng’abaserikale abamu abazze bakwatibwa olw’okwenyigira mu bubbi n’okuwaayo emmundu. Kirumira agamba nti bwe yayitiddwa okweyanjula ku offiisi z’ekitongole kya PSU (ekikwasiza abapoliisi empisa), aliko olukalala lw’ababbi 300 abatigomya Kampala nemiriraano lwe yawaddeyo. Wabula kyamwewuunyisizza okusanga omu ku basajja b’abadde anoonya ku misango gy’obubbi, Ibrahim Nsubuga ng’ali mu ofiisi eno atudde n’atandika n’okumukudaalira nti, “Ddamu oyogere!” Kirumira agamba nti Nsubuga ne bane abalala okwali Taibu Kyaze, Fred Mumpi n’abalala nga beeyita bakozi mu bitongole byokwerinda eby’enjawulo okuli ne CIM yabakwatira e Namung’oona ku kasaawe mu March w’omwaka guno nga batambulira mu mmotoka y’ekika kya Progres enzirugavu nga baliko olukwe lwe bali baakoze okunyagulula Supamaketi n’edduuka lya hadiweya e Nansan. Aduumira Poliisi mu Kampala, Andrew Felix Kaweesi ng’ayitaayita mu kibuga. ABANENE BASONGEDDWAAMU Amangu ddala ng’abatuusizza ku poliisi y’e Nansana aba poliisi abaamweyanjulira nti ba kitongole kya Flying-squad baabakima nga bagamba nti babatwala Kabalagala, balinayo emisango era nti okuva olwo teyaddamu kubalaba okuggyako okufuna ebbaluwa okuva ewa looya waabwe ng’ayagala Kirumira abasasule obukadde 3 olw’okuboonoona, bw’agaana bamutwale mu kkooti. Owa poliisi omulala (amannya galekeddwa) ng’akolera ku kitebe kya bambega e Kibuli agamba nti mu November wa 2013 waliwo omunene omu eyamuggyako omu ku babbi b’omu takisi gwe yali akwatidde e Nateete ng’amutwala ku Jinja Road gye baali baamuggulako omusango. ‘Ditekitivu’ (mbega ow’eddaala erya wansi) ono yannyonnyodde nti oluvannyuma lw’okweyanjula ku poliisi y’e Nateete ne bamuwa abapoliisi abalala bamuyambe okukwata omubbi ono, nga batudde mu mmotoka bavuga okukwata ku luguudo lw’e Wakaliga, waliwo mmotoka ya poliisi ‘eyabasalako’ (njogera ya bavubuka) abaserikale abaalimu ne babategeeza nti omubbi ono bamubatumye ku poliisi ya Kampalamukadde. Waliwo ‘mayinja’ omu eyali atuula ku poliisi y’e Kibuye (baamukyusa) agambibwa okuwaayo baasitoola ye okukozesebwa abamenyi b’amateeka ate abalala bakikola ne beekwasa nti bazibabbyeeko! Fred Enanga, omwogezi wa poliisi mu ggwanga akkiriza eky’abapoliisi abamu okukolagana n’abamenyi b’amateeka. “Tukola ekisoboka okulaba nga bofiisa bano baggwaamu kubanga batono mu poliisi,” Enanga bwe yagambye. Owapoliisi akwatibwa mu bunyazi n’emmundu oba okugipangisa mu gimu ku misango gye bamuvunaana kuliko ogw’obutujju. “Olw’okuba abapoliisi bava mu bantu babulijjo sisobola kugamba nti bonna batuukirivu y’ensonga lwaki waliwo abakwatibwa mu bumenyi bw’amateeka. Abantu babulijjo batuyambe okutuwa amawulire g’abakyamu abali mu poliisi tujja kubanoonyerezako bavunaanibwe,” Enanga bwe yagambye. Agamba: Emmundu za poliisi ezizze zikwatibwa mu bubbi n’obunyazi zeezo ezabbibwa mu sitoowa ku poliisi ez’enjawulo. Naye kino kati twakisalira amagezi tewali akyasobola kubba oba kumala gafulumya mmundu mu sitoowa olw’obukumi obw’amaanyi obwassibwawo. Omupoliisi okufulumya emmundu alina okulaga ky’agenda okugikozesa ne gy’alaga. Buli ssasi ly’ofulumya olina okulaga kye likoze, tulina abantu abakola ku gw’okulawuna nga bakebera ku bagenze okukuuma okulaba oba emmundu zaabwe bazirina. Yayongeddeko nti aba poliisi nabo balina abeng’anda n’emikwano naye kikyamu okulemesa omuserikale omulala okunoonyereza oba okukwata omuntu azzizza omusango. Ku ky’okuggya abakwate mu mikono gy’abo ababakutte ne babatwala awalala, Eanga agamba nti ebiseera ebisinga kiva ku kuba nti omukwate abeera n’emisango egy’amaanyi gye yazza awalala ng’abadde anoonyezebwa sso si kuyimbulwa ng’abantu abamu bwe balowooza. Singa tufuna amawuulire g’okukwatibwa kw’omuntu abadde anoonyezebwa ku misango emirala ne tukizuula nti omupya gwe baakamukwatirako mutono (munafu) ku gwe yasooka okuzza, tusobola okumusabayo tusooke tukole ku mukadde kubanga guno omunafu kkooti esobola okumuyimbula ng’atwaliddwaayo ku musango omunafu olumu n’okudduka. ETTEEKA KYE LIGAMBA Okusinziira ku tteeka nnamba 28 mu kitabo ky’amateeka agafuga poliisi, singa owapoliisi asingibwa omusango, ayinza okugobwa mu poliisi, okuwozesebwa mu mbuga z’amateeka, okuggyibwako amayinja, okuwa engassi etasukka ebitundu 30 ku 100 eby’omusaala gwe. OMUSAALA OMUTONO Okufaananako n’abasomesa abasiiba bakaaba olw’okumala ebbanga eddene nga tebafunye musaala, ne mu poliisi embeera y’emu. Tebasasulwa misaala mu budde ngate abalala basasulwa butitimbe. Embeera eno evuddeko abaserikale abamu okukolagana n’abamenyi b’amateeka okufuna ekyokulya. Abamu ku bapoliisi be twayogedde nabo omuli n’abo abamaze ebbanga nga tebafuna musaala baatutegeezezza nti embeera eno n’ey’omusaala omutono ewaliriza abaserikale abamu okuva ku mirimu gyabwe bagende bayiiye ekyokulya n’okulabirira famire zabwe. Omuserikale omu era ku kitebe e Kibuli yang’ambye: Okutuusa nga nsasuddwa ebbanga lyonna ery’emyezi esatu gye mmanja sigenda kudda ku mulimu! Nzazeewo ng’ende nkole ebirala , siraba nsonga lwaki nkola ate nga sisasulwa. Ngezezzaako okwemulugunya eri bakama bange abantwala naye sifunye buyambi bumala. Bwe balimpita okwewoozako ndibannyonnyola nti ekyanzigya ku mulimu lwa butasasulwa osanga mu mbeera eyo banansasula.” Abaserikale bangi okusobola okwogera ku ssente ze bafuna beenyigidde mu mirimu ng’okuvuga bodaboda, takisi n’ebirala. Abalala basazeewo kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka omuli n’obubbi abalala kukolagana na bamanyi b’amateeka. Wabula ku nsonga y’omusala, Mw. Enanga yagambye nti kino si kizibu kya poliisi kiviira ddala mu minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti n’ey’ebyensimbi olwa tekinologiya omuggya eyaleetebwa okukola ku nsasula y’abakozi era yawadde eky’okulabirako nti ku nkommerero ya March kyazuuliddwa ng’abapoliisi 2,600 babadde tebasobola kufuna musaala gwabwe olw’obutaba na nnamba kwe basasulirwa! Wabula Enanga agamba nti obutafuna musaala tekitegeeza wapoliisi kwebulankanya ku mulimu. Omuserikale okuva ku mulimu nga tafunye lukusa n’amala wiiki okweyogerayo kimenya mateeka era ono bayinza okumutwalira mu kifaananyi ky’abo abasuddewo omulimu. Enanga agamba nti waliwo emitendera egigobeerwa omupoliisi ayagala okuva mu poliisi omuli okuwaayo okusabakwo mu bukiiko obw’enjawulo okusinzira ku ddaala ly’oliko. Omupoliisi aweerezza emyaka 5 asobola okuwandiika n’asaba, amaze emyaka 20 ng’aweereza asobola okuwummula.
Posted on: Sun, 20 Jul 2014 09:55:49 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015