OMUVUBUKA eyakuzibwa enkima, akuze n’avaamu omwasi, asabye - TopicsExpress



          

OMUVUBUKA eyakuzibwa enkima, akuze n’avaamu omwasi, asabye abamulabirira bamunoonyeze omukazi awase. John Ssebunnya, 26, ow’e Kabonge e Bombo ye yalondebwa enkima mu lutalo lwa Museveni nga zino zaamulera okumala ebbanga okutuusa abantu lwe baamulonda mu kibira ne bamuzza mu bantu. Obulamu bwe buzze bukyukakyuka mpolampola okuva mu nneeyisa y’enkima gye yalimu okudda mu y’abantu. John Ssebunnya yalondebwa mu kibira mu 1991. Yanunulwa okuva ku nkima ezaali zimulabira, omukyala Milly Ssebba eyali agenze okutyaba enku ye yalaba enkima ekika kya ssewagaba ezaali zizannya n’omwana ono waggulu ku muti kwe kukuba enduulu abatuuze ne bajja ne basuuza enkima omwana ono. Oluvannyuma omwana yaweebwa emmere efumbe n’agigaana naye olwamuwa ebibala n’abirya. Yatwalibwa mu maka ga Paul Wasswa owa Molly and Paul okumulabirira ng’ono ye yamuwa omukyala Nnaalongo Daizy okumulera. Nnaalongo azze amuyigiriza okwogera mu 1999 yatwalibwa e Bungereza okuyimba ng’ekibiina kya ‘Association of relief and instruction of children in Africa’ be baamutwala.Kyazuulibwa nti Ssebunya kitaawe John Kakande yamusuula mu kibira nga bafunye obuzibu ne mukyala we, bombi baafa. AMULABIRIRA BY’AGAMBA Ssebunnya ebiseera ebisinga abimaze n’omukyala Nnaalongo Daizy gw’ayita maama omuto oba Aunt (soma anti) era amwagala kuba y’amutegeera era y’amukuzizza. “Ssebunnya, anneeyabiza mu buli kintu kye kyonna, alina empisa, eddiini Mukristaayo era buli kyonna ky’awulira mu bulamu bwe ne bw’aba mulwadde ajja n’antegeeza nga kati ekimuli ku bwongo kufuna mukazi kuba ayagala kuwasa,” Nnaalongo bw’anyumya. Engeri gye yamufunamu: “Omwana ono natandika okubeera naye mu 1989, nga namufuna kuva wa dayirekita w’amasomero ga Molly and Paul, Anko Paul Wasswa. Anko Paul yamuggya Bombo bwe yali yaakalondebwa okuva mu kibira. Bwe yamutuusa awaka abaana be baali bamuyita nkima olw’ebikolwa bye, wano we yamunkwasizza ne ntandika okubeera naye. Engeri gyendi omusomesa, Ssebunya namukwatanga mpola ne mmwagazisa n’okusoma era yasomako k’asomye n’Olungereza alukuba budinda. Natambulanga naye mu buli ssomero gye nagendanga okutuusa omukulu w’essomero erimu e Makindye lwe yamungobya nti, ‘Ggya wano enkima yo’, Nawulira bubi kuba omwana mmukuzizza ng’abaana abalala era mwana ng’abalala. Anko Paul abaddewo nnyo ku lwa Ssebunnya era amutambuzizza amawanga g’Abazungu agawera. Olw’okumutambuza kuno, yafuna n’Abazungu abasobodde okumuyamba ne bamuzimbira n’ennyumba mw’asula kati. Mu bano kuliko abava mu Amerika omuli Held- Christenson, Suslenotynem Pam Gnerink, Douglas Candevine, Lewis Burg Penwograne nga bano bajja ne bayamba Ssebunnya mu 2006. Waliwo abaava e London ne bajja mu 2011 nga mu bano kwaliko Poispon, Triston ne Mary Ann. Bano be batuyambye okugulira Ssebunnya ettaka e Bombo n’okumuzimbiramu ennyumba. Abazungu bwe bajja bambuuza Ssebunnya ky’asinga okwagala ne mbategeeza nga bwe tutalina w’asula kubanga mpangisa nga n’omwana ono naye w’asula. Bang’amba tunoonye w’asobola okufuna ettaka. Bwe twamubuuza w’ayagala n’atugamba nti ayagala Bombo ku kyalo ky’ewaabwe kubanga be bamutegeera obulungi.” Okufuna Ssebunnya okwogera naye lwabadde lutalo anti nga si kyangu kumusanga waka engeri obudde bwe obusinga gy’abumala mu nnimiro oba ku ttale ng’anoonya ebibala kuba bye bisinga okumuwoomera. Ssebunya buli ky’akola akikola ku sipiidi kuba ne bw’aba atambula oyinza okugamba adduka buddusi. Mu kwogera ananaagira ng’okwatula ekigambo, kimutwalira eddakiika nga ssatu, munyumya mulungi lwa kuba emboozi yeetaaga nnyimpimpi. Mu makaage awo mu luggya asobodde okusimbawo kasooli naye ng’ekizibu ky’alina kya babbi. Mu mboozi ennyimpimpi gye twanyumizzaamu ne Ssebunnya, ayogera ku ky’okwagala okuwasa kuba akuze yeetaaga okuba n’amaka amagundiivu. OMUKAZI GW’AYAGALA Omukazi gw’ayagala okusinziira ku Nnaalongo nze ng’aleze John mmanyi bulungi ky’ayagala tujja kukwatagana naye nga tufuna omukazi gw’ayagala okuwasa. era tuli beetegefu okumukolera embaga. Bwe tunaafuna omukazi tujja kuwandiikira Abazungu abamuyamba ate n’abazirakisa nsuubira bajja kutuyambako olaba basondera beesobola naye olowooza Ssebunnya ye tebaamusondere za mbaga? Eyandyagadde okumufumbirwa akube ku ssimu 0782082430.
Posted on: Sun, 14 Jul 2013 19:12:29 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015