ONO MBU OMULANGILA LUKENGE KATOOGO ABADDEKI? The - TopicsExpress



          

ONO MBU OMULANGILA LUKENGE KATOOGO ABADDEKI? The Investigator Whaaaat! ======== Ssebo, TOKYASAANA KUYITIBWA KATIKKIRO WA BWAKABAKA BWA BUGANDA Bwe wajja ku bwa Katikkiro twafuna enkenyera olw’engeri gye wa bufunamu, naye oluvannyuma twafunamu essuubi ettonotono nti oba onoobikkako ku mize gyo gye tumanyi. Era ne tutwala obuvunaanyizibwa okukuwandiikira ebbaluwa nga tukusaba oyigire ku nsobi za gwe waddira mu bigere. Eky’ennaku twawona mubbi ne tufuna omuzigu. Munno obuzibu bwe yalina n’Olulyo Olulangira gaali Masiro g’Ekasubi kyokka gwe mu kifo ky’okulaba ekyo n’oba mwegendereza, wa kikinaza buwawaatiro! N’ogoba olulyo olulangira lunnannyini masiro mu masiro nti toyagala bulombolombo bwalwo, n’otuuka n’okulonderayo akakiiko akako ku buwangwa bw’Olulyo Olulangira nga ffe bannannyini otuyigganya! Olina ekitalo kye we wulira. Okumanya osiiwa n’ofuna obuvumu okutongoza Mugema w’Amasiro n’embiri owuwo atali wa nnono yaffe! Ssebo oli muwemu, tojooga oweweeta mbwa kabina. Tetumanyi kikuwaga ku yingirira buwangwa bwa lulyo Olulangira, naye beera mu kakafu nti oja ku kyasimula. Jjuuzi twakubwa enkyukwe bwe wali otegeka okugenda e Bulaaya amawanga gaayo bwe gaatandika okulondobamu abantu be gakkiriza okuyingira ewaabwe ne be gatakkiriza, nga gakozesa ekipimo kya kugaana bisiyaga. Ekituufu tetukuwulirangako ku buvunaanyizibwa bw’oyolesa ne we kiteetaagisa ng’ovumirira ebisiyaga. Kya twewuunyisa Abaganda abaavaayo okuvumirira ebisiyaga okugaanibwa ne bakkirizaayo bannaabwe bokka, nga Katikkiro Mayiga gw’ omu ku bo. Tulina okukwekengera mu nsonga eyo kubanga toyagalira ddala buwangwa ng’ate n’abasiyaga kye basookerako kuwakanya buwangwa era tebaagala bulombolombo; ekijja mu bwongo kye bakola. Wegambagamba nti oli muto, wandiba omutuufu kubanga byonna by’okola bya kito. Naye abakulu ka tukubuulire; oweza emyaka 45 n’envi, ekyo kiraga nti n’obuto bwe weegamba tobumanyi. Kati kyetendeke okyemanyiize nti oli musajja mukulu era otandike okukola ebiyisa omuntu nti ‘musajja mukulu’. Okoze eby’obujoozi bingi ku Buganda nga welimbise mu buto era gwe wakubiri okuddirira Apolo Kaggwa mu ba kaggwensonyi abatyoboodde ennyo ennono n’obuwangwa bwa Buganda. Oli mubuufu bwa Apolo Kaggwa obulako kutta Kabakawo nga bwe yakola Kabaka Mwanga, olwo omaleyo byonna bye yakola Obwakabaka. Labira ku bitabo by’owandiise ebijooga Obwakabaka bwaffe, ne Apolo Kaggwa yeepanka okuwandiika ennono y’ensibuko ya Buganda. Otumanyidde n’osukka n’otuuka okujooga Kabakawo n’omutuula mu kifuba! Ffe tulaba okaada nga Kabaka ng’era omuyisa nga nti mwenkana; olambula Obuganda ne bakuzimbira ebiyitirirwa n’okukusimbira ebitooke, ba kukubira eŋoma ng’oyitawo era ne bakweyalira, otambula ne Nnamulondo kw’otuula era ddala ng’omuntu agwa mu ssa lya Ssabasajja; nga tetumanyi nti oli musajja munne! Ekyo tetusobola ku kigumiikiriza. Bino bye bimu ku by’ejjoogo ly’okoze ku Bwakabaka bwa Buganda ebikugobesezza ku bwa Katikkiro; 1. Tulowooza nti olina engeri gy’oteeteramu n’abantu abalya ebisiyaga okusinziira ku by’olugendo lw’Ebulaaya. Kitukuba ensonyi okubeera ne Katikkiro omusiyazi, ekyo kizira nnyo mu Buwangwa bw’Obwakabaka bwa Buganda. 2. Watuula Kabakawo mu kifuba, n’otakoma okwo n’otwelagirako mu lwaatu! Nnabagereka naggulawo omwoleso Katikkiro Mayiga n’alangirira ku laadiyo ya CBS okuguggalawo; Nnabagereka naggulawo eby’abakyala Katikkiro Mayiga n’abiggalawo; Nnabagereka naggulawo olukiiko Ttabamiruka Katikkiro Mayiga n’aluggalawo! Ekyo kikolebwa bba Kabaka yekka ne balamube Abalangira n’Abambejja. Ha! Wamulumbye n’Ebulaaya ng’akola ekisaakaate! 3. Abataka abakulu b’Obusolya bwe baakusaba okubanyonnyola endagaano ey’ekimpatiira gye wajja nayo ku bwa Katikkiro, wa bayita masaŋanzira nti tosobola kusomera ndagaano mu masaŋanzira. Ekyo kiwemula Omuganda obutamanya bukulu bwa jjajjaawe omukulu w’akasolya k’ekika. 4. Wawamba amasiro g’Ekasubi n’olangirira ku ladiiyo CBS nti toyagalayo bya Bulombolombo. Ssebo, Obuganda ggwanga lya bulombolombo era naffe Abalangira tuli ba buloombolombo; e Kasubi olinayo kakwate ki kw’osinziira okutwewanikako? Bakuziika mu masiro e Kasubi oba olinayo jjajjaawo? Okwo okumanyiira kwooleka nti tomanyi bukulu bwa Balangira nti bakusinga. 5. Watongoza Mugema w’embiri n’Amasiro ng’otyoboola obuwangwa n’ennono ya Buganda n’olulyo olulangira. Kale gwe musajja wattu Mayiga omanyi ki ku nnono ya Mugema n’olulyo olulangira? Weeyitaki, gw’ani azanyira ku nnono yaffe? 6. Otunda ettaka ly’embiri n’Amasiro; tulina obukakafu kwe watundira ettaka ly’olubiri lw’omutuba gw’omulangira Kaweesa e Kawempe Jinja Mawuuno. Ekyo kyooleka obujoozi bw’olina ku lulyo olulangira n’olukwe okusaanyaawo ensibuko zaalwo. Awo ekyama ekiri mu kuwamba Amasiro g’e Kasubi kyeyeludde. 7. Watyoboola olulyo olulangira ng’oteeka akakiiko k’obuwangwa e Kasubi ng’olangiridde nti toyagala bulombolombo bwa lulyo olulangira. Byonna ebikolebwa ku nsibuko zaffe embiri n’amasiro bikulemberwa Balangira. Omulangira ye mwana omulenzi azaalibwa mu nsikirano y’olulyo olulangira. 8. Oswaza Obwakabaka bwa Buganda ng’ogenda osabiriza olutakoma. Gwe munnaffe oli kaggwensonyi toswala, naye Obuganda obufudde bulombi obuteesobola, ekyo kituweebuula. Gwe mu kukuzibwa tebaakukubira ku sabiriza? E Buganda omwana bw’ayitiriza okusabiriza aswaza muzadde we. Eky’ennaku omudidi gwe bakuwa osinze kugukozesa ku tutyoboola na kusaanyaawo bya buwanga bya Buganda. 9. Ozanyidde mu lulimi lwaffe Oluganda mu kiseera nga tutakabana kulutereeza. Olulimi ye nnamuziga kwe tutambuliza obuwangwa n’ennono ya Buganda. Bwe tuba tukola emikolo n’obulombolombo tetuba bakassiru, tubeera twogera ng’ebigambo bye twatula biwa amakulu mu lulimi Oluganda. Kale nga Katikkiro oyogera otya Oluganda mu ngeri y’ekiyaaye, ate mu lwatu? Odidde ebigambo bye mukozesa mu masanyu eyo mu kiro obisonseka mu lulimi lwaffe olutukuumira obuwangwa n’ennono. 10. Gwe Katikkiro asoose e Buganda okukuumibwa ng’omubbi ng’era ogobererwa oluseregende lwa motoka ezikubyeeko abaserikale eb’ebika byonna okuva mu gavumenti ya Uganda. Kale tutya nti toli waffe, toli wa nnono ya Buganda ne by’okola byonna tebyooleka kitiibwa kya Buganda. Tukakasizza nti tolina kya Buganda ky’omanyi; mukyo tosobola ku kitegeera nti Obwakabaka bwa Buganda butambulira ku buwangwa na nnono. So si ku butetenkanya kwa bwongo bwoogi okw’abantu abayivu abalinga gwe abawandiika eby’obulimba ku Buganda. Kale nga bwe wagamba nti toli Muganda, tukakasa nti ekyo kituufu era tuzudde nti oli wa ggwanga eliyitibwa Abahizu mu Tanzania okulilaana ennyanja Tanganyika mu bantu abayitibwa Abaziba. Bajjajjaabo bajjira mu kibinja okujja e Buganda era bonna ne bayingira ekika ky’Omutaka Namugera Kakeeto okufuuka ab’Omutima. Omuntu asobola okuva ewaabwe n’ajja e Buganda naye tasobola kufuuka Muganda, era ebika tubizaalibwamu tetubiyingira buyingizi. Kale omuntu atali Muganda tasobola kulya bwa Katikkiro bwa Buganda kubanga tabeera wa nnono yaffe ng’era tamanyi buwangwa bwayo nga naawe bw’okirabye. Empewo z’Obwakabaka bwa Buganda si z’ewammwe era tezikikwatako. Ebivve byonna by’okoze bivudde ku kuba nti toli wammwe, by’oyonoona tomanyi buwangwa bwabyo era tebikutiisa kwonoona kubanga tolina ky’obyeguyaamu. N’olweekyo, ffe Abalangira n’Abambejja ba Nnannyini lulyo Olulangira olulimu ennono y’ensibuko y’obuwangwa bwa Buganda, tukugobye ku bwa Katikkiro bw’Obwakabaka bwa Buganda nga tusinziira mu buyinza obutuweebwa ennono ya Buganda mu nsikirano yaffe ng’Abalangira n’Abambejja. Tokyaali Katikkiro wa Buganda era toddamu okukaalakaala nga Katikkiro. Tewali kulabula kulala. Omulangira Lukenge Katoogo …………………………………………… Ssentebe w’olukiiko lw’abalangira n’abambejja (Amyuuka) cc Kabaka Muwenda Mutebi cc Abalangira abakulu b’eMituba cc Ssabalangira wa Buganda cc Abataka abakulu b’obusolya bw’ebika bya Buganda cc Abalangira n’abambejja bonna cc Bazzukulu ba Buganda cc Bannamawulire
Posted on: Wed, 12 Nov 2014 10:39:50 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015