Bannaffe mwenna abalungi abanyumirwa omukutu guno tusazewo - TopicsExpress



          

Bannaffe mwenna abalungi abanyumirwa omukutu guno tusazewo tubawengayo agamu ku mawulire agafa mu Buganda ne mu Uganda nga tuyita ku mukutu guno. Tusiima nnyo ebiroowoozo bye mutuwa ebizimba omukutu guno era tubasaba mugende mu maaso. Bwe wabaawo okwemulugunya kwonna oba nga olina eggulire eryokya kuba ku Nnamba eno. 0772 426440.oba kuba ku eno 0312333227 Akakiiko akavunaanyizibwa ku byenjigiriza kongeddwa buvunaanyizibwa. CBS 13/08/2014 Akakiiko akavunaanyizibwa ku byenjigiriza aka “education service commission” kaweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okujjuzanga ebifo ebiba birekeddwaawo nga bikalu. Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko kano Haji Lubega Wagwa, akakiiko kano tekabadde na buyinza kutwala buvunaanyizibwa buno ate nga wabaddewo emiwaatwa mingi era nga n’ebifo ebimu mu masomero bibadde bimala ebbanga nga temuli bakozi bankalakkarira oluvannyuma lw’abo ababa babirimu okubirekulira. Bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku nsonga z’ebyenjigiriza Lubega Wagwa ategeezezza nga minisitule y’ebyenjigiriza bw’ebadde ejjuzanga ebifo bino ng’eteekawo abantu abakola-nga ate ne baweereza ebbanga eggwanvu nga tebakakasiddwa, ate nga n’abamu baba tebalina bisaanyizo bibasaanyiza kubeera mu kifo ekyo, ekintu ekikosezza ennyo eby’enjigiriza. Haji Lubega Wagwa agamba nti okuwabula kuno okwabawadde obuyinza buno kwavudde mu minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi ba gavumenti.
Posted on: Wed, 13 Aug 2014 15:36:35 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015