ENSIBUKO YEBICUPULI BYA SSENTE.TWEJUKANYE. WANO TWAKOLA - TopicsExpress



          

ENSIBUKO YEBICUPULI BYA SSENTE.TWEJUKANYE. WANO TWAKOLA RESEARCH MU 2013 NE BUKEDDE NETUFULUMYA BINO WAMANGA NAYE KWOLWO BYAALI BYA KIRUMIRA NGOMUNTU KATI BIKUTTE KU MWENA ERA WALIWO ABAKWATIIDDWA E SEGUKU. -----+++++++ Bya Ahmed Mukiibi OMUZE ogw’okugaba ssente enfu ezaakazibwako ery’ebicupuli gusitudde buto! Bannayuganda bangi abafere be basibye ssente zino nga n’abamu bizinensi zaabwe zikoseddwa n’abalala baggwamu ne badda mu byalo. Bannabyabufuzi, abalimi, abalunzi ne banneekolera gyange, bafiiriziddwa ssente era bangi ne bakoma lwa bicupuli. Okusinziira ku Lipoota ya Poliisi ku buzzi bw’emisango, Annual Crime & Traffic/Road Safety Report 2012’, emisango gy’okujingirira ssente egyanoonyerezeddwako mu mwaka 2012 gyabadde 728. Okusinziira ku mukutu ogwa Wikipedea, omuze ogw’okujingirira ssente gumaze emyaka n’ebisiibo nga gwatandika mu kyasa ekya 11, gy’emyaka 1,000 egiyise. Omuze guno gwatandikira mu Bazungu, eno mu Uganda gukyali mupya nnyo tegunnaweza wadde emyaka 30. Abazungu naddala Abayudaaya be basinga obukugu mu muze guno era baagwenyigiramu nnyo naddala mu biseera ebya Ssematalo ow’emirundi ebiri. Ssente za Amerika eza Ddoola, ze zisinga okujingirirwa nga mu kiseera kino ddoola obukadde nga 220 ze ziteeberezebwa okubeera enjigirire eziyitibwa ‘Superdollars’, olw’obukugu bwe bazikolamu. Ssente za Bulaaya eziyitibwa EURO, eza Bungereza eza Pawunda n’endala mu mawanga ag’enjawulo okuli n’eza Uganda nazo zijingirirwa. Ssente ez’ebicupuli zitandise myaka gya 1993 Gavumenti ya NRA bwe yajja mu buyinza mu 1986, yasangawo ssente gavumenti ya Bannamagye eya Gen. Tito Okello Lutwa ze baali baakakubisa mu 1985. Ssente zino zaakola okutuuka mu 1987 olwo Gavumenti ya NRA n’ekola enkyukakyuka n’ekubisa empya ttuku omwali ennusu (1,2, 5 ne 10) ne ssente ez’empapula ( 5 ,10, 20, 50, 100 ne 200). Wakati wa 1987 ne 1992, gavumenti yakyusa mu ssente n’eyongeramu empapula eza 500 ne 1,000 era zino tezaajingirirwako n’ekigambo ebicupuli tekyaliwo mu Uganda. Okunoonyereza Bukedde Online kw’akoze kulaga nti omuze okujingirira ssente gutandise mu 1993, gavumenti bwe yaleeta akapapula aka 5,000/- akasookera ddala mu Uganda. Okuva olwo omuze guzze gukula ng’eno Bbanka enkulu bw’eyiiya obukodyo n’obubonero obwekusifu okulemesa okujinga ssente kyokka nga n’abagezigezi nabo bwe bagitetenkanya. Mu 1998, Bbanka enkulu yaleeta akapapula aka 10,000/- akasookera ddala mu Uganda nga kano abafere baatandikirawo okukanjigirira era baakwata bangi obujega. Omuze guno gweyongera nnyo mu 1999 Bbanka enkulu bwe yaleeta akapapula ka 20,000/- ate bwe yakubisa akapapula ka 50,000/- akasookera ddala mu 2003 abafere baasekera mu kikonde. Ensonda mu Poliisi zaategeezezza nti abakuba ssente enfu basinga kwettanira kujingirira obupapula obwa ssente ennene. Mu kiseera kino, Poliisi egamba ssente enfu zisinga kubeera za bupapula obwa 50,000/-, 20,000/- ne 10,000/-. Ssente enfu ziva wa? Ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango egyekuusa ku nsimbi n’ebyenfuna kigamba nti ssente enfu eziri mu Uganda ziri mu bika ebyenjawulo okusinziira ku gye bazikubira. Waliwo ezikubirwa ebweru w’eggwanga n’ezikubirwa wano. Ssente ze bakubira wano abazijingirira beefuula nti balina obutiba n’eddagala lye bakoze naye ng’ekituufu bakozese byuma bya ‘Photocopy’, ebyomulembe okwokyamu ssente nga beeyambisa empapula ez’oluwerere. Bafuna akapapula ka ssente akapya ttuku ne bakayisa mu kyuma erudda n’erudda okumala enfunda eziwera okutuusa lwe kavaayo obulungi, oluvannyuma ne ne bagatta wamu obupapula obwo. Ate ssente enfu ezikubirwa ebweru w’eggwanga zirimu ssayansi mungi okusinga ezikubirwa munda mu ggwanga. Poliisi agamba nti ssente enfu ezisinga okutambuzibwa mu Uganda ziva mu mawanga ag’ebweru nga zino zeefaanaanyiriza nnyo ssente entuufu era si kyangu kuzimanya mpozzi nga zikaddiye. Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti zino zikubirwa mu mawanga agalimu entalo z’omunda omuli: Somalia, DR Congo, South Sudan ne Central African Republic. “Olw’okubanga mu mawanga omuli entalo temubaamu kukwasisa mateeka, Bamafia beeyambisa embeera eno okukola kye baagala”, Ofiisa wa Poliisi omu bwe yagambye. Baani abali mu ssente enfu? Bamafia abali mu Bizinensi ey’okukuba ssente mu mawanga ag’ebweru bakolagana ne Bannamagye oba abakulembeze b’abayeekera mu mawanga ago okukubisa ssente enfu, ne bagabana. Ebibiina by’abayeekera eby’enjawulo eby’omu nsi za Afrika okuli UNITA eky’omu Angola, SPLA ekya Sudan, Democratic Republic of the Congo (FDLR) ekya DR Cong, n’ebirala bizze bifulumira mu Lipoota ez’enjawulo ku bya ssente ezinjigirira Abatujju aba al Shabaab wamu ne bamukwata mmundu ab’obubinja obw’enjawulo mu Somalia nabyo byenyigira mu kukuba ssente enfu okusobola okutambuza emirimu gyabwe. Ssente enfu ziyingizIbwa zitya mu Uganda Nga ssente ziwedde okukubwa Bamafia beeyambisa bagenti baabwe abaziyingiza mu Uganda mu ngeri za mirundi ebiri; beeyambisa ennyonyi ne bayisa ku kisaawe e Ntebe oba bayita ku ttaka ne bayingira nazo ku nsalo za Uganda mu bitundu ebyenjawulo. Okunoonyereza kwa Poliisi kulanga nti ssente enfu bwezibeera nga nnyingi eziri wakati w’obukadde 100 n’akawumbi, bagenti bazisiba mu bipakiti ebya Sigala ne beefuula abakukusa owa ‘Super Match’ , olwo ne bagulirira abakuumi ab’oku nsalo ne baziyisaawo. Ate bwe zibeera entono bazikwatira mu bisawo eby’omu ngalo ne balinnya bbaasi ne baziyingiza nga bayita ku nsalo oba olumu ne balinnya ennyonyi n’ekisawo kye mu ngalo n’ayitawo nga tebamutegedde. Ssente enfu ezisinga okuyisibwa ku kisaawe zitambuzibwa Basomaali abanoonya obubudamu nga balina ebbaluwa z’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamu ekya UN High Commissioner for Refugees (UNHCR) era tebatera kwazibwa. Amakubo ga ssente enfu Okunoonyereza kwa Bukedde kulaga nti ssente enfu zisinga kuyisibwa ku nsalo ya Uganda ne South Sudan ey’e Nimule ne ku nsalo ya Uganda ne DR. Congo ne ziggukira e Kuboko ne Zombo. Ku nsalo ya Uganda ne Kenya, ssente enfu zitera kuyisibwa e Bukwo mu nsozi , e Busia n’e Malaba bamafia gye bazikweka mu Sigala owa ‘Super Match’. Dipo za ssente enfu Poliisi egamba nti ssente enfu bamafia bwe bazituusa munda mu ggwanga, balina enkambi zaabwe mwe bazisaasaanyiza nga beeyambisa obukodyo obuzibu ddala. Mu Kisenyi: Abasomaali abanoonyi b’obubudamu bwe bayingiza ssente enfu, batuukira mu Kisenyi we balina enkambi yaabwe era awo ababamanyi we babasanga okubasuubulako ‘emmaali’. E Nansana Ofiisa wa Poliisi, Muhammad Kirumira agamba nti ebbanga lye yamala e Nakulabye nga OC, yazuula ebintu bingi ku bumenyi bw’amateeka obw’ensimbi ezebicupuli. Agamba nti e Nansana ku Kibbulooka waliwo dipo ya ssente enfu era yakwatirawo abavubuka bangi ne ssente zino.asa abavubuka be omuli n’aba Boda boda. Alina abavubuka abenjawulo abamukolera ng’era ebiragiro bye bakolerako biva wa Young yekka Buli kicupuli ekya 50,000/- Young, akisuubuza 25,000/- ate ekicupuli ekya 20,000/-, akisuubuza 10,000/-. Nakulabye E Nakulabye nawo waliwo ekibondo kya ssente enfu era abafere abazirimu bakolagana n’ekibondo ky’e Nansana. Akulira ekibondo ky’e Nakulabye muvubuka ayitibwa Kayondo ng’alina ebbaala ne loogi bye yeefula nti by’addukanya kyokka ng’ali mu ssente enfu. Ono y’avunaanyizibwa ku bicupuli ebisaasaanyizibwa e Kasubi. Namung’oona: Omufere akulira ekibondo ky’e Namung’oona bamuyita ‘Macupa’ ng’asinga kukolera mu kifo we bayita ku Luyinja. Ssente ez’ebicupuli ezisaasaanyizibwa e Wandegeya, ku Bbiri n’e Mulago ziva wa Macupa. Abavubuka ba Macupa batera kukolera awo ku bitaala e Wandegeya nga bangi beefuula abatembeeyi abatunda ‘Air time’, obutimba bw’ensiri, obuuma obukuba ensiri oluusi ne cakala. Namasuba, ku Stella n’e Kajjansi Ekibondo kya ssente enfu ekisinga obunene mu Uganda kigambibwa kubeera Namasuba nga kirimu abafere ab’omutawaana ennyo Poliisi b’egamba nti bazibu baakukwata. Bakolera wakati w’omu Najjanankumbi - Stella, Namasuba n’okutuukira ddala e Kajjansi. Ssente zonna enfu ezisasaanyizibwa ku Namirembe Road, Pride Theatre ne ku Paaka za Bbaasi naddala ez’omu Kisenyi ziva Namasuba. Dayirekita w’ekitongole ba mbega ba Poliisi mu ggwanga, Muky. Grace Akullo agamba nti okujinga n’okutambuza ssente enfu kye kimu ku buzzi bw’emisango obusinga okubeera obuzibu obw’okulwanyisa kubanga ababwenyigiramu si bangu baakumanya. Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti abantu abasinga okutambuza ssente enfu kuliko; abatembeeyi, abatakisi, bamalaaya, ab’amabaala, abakozi b’omu bbanka n’abasuubuzi abanene ab’omu Arcade ne mu Kikuubo. Amakubo ssente enfu mwe zitambuzibwa Mobile Money: Bangi ku baddukanya Bizinensi eza Mobile Money ababbiddwa abafere ababasiba ssente enfu. Mu Takisi Abafere abatambuza ssente enfu ennaku zino babbira nnyo mu Takisi. Ofiisa wa Poliisi Kirumira agamba nti Takisi ezigaba ebicupuli zisinga kukolera ku nguudo nnya nga mulimu; 1 Eziva e Busega ne ziyita ku Northern bypass okutuuka e Bweyogerere. 2 Eziva ku Namirembe Road zikoma e Kasubi oba Namung’oona. 3 Ez’oku Masaka Road nga ziva Kampala ne zikoma e Kyengera. 4 N’ez’oku Jinja Road nga ziva e Kampala ne zikoma e Banda.
Posted on: Tue, 14 Oct 2014 20:49:54 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015